Psalms 116

1 a Mukama mmwagala,
kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
2 bKubanga ateze okutu kwe gye ndi,
kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

3 cEmiguwa gy’okufa gyansiba,
n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
4 dNe ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
“Ayi Mukama, ndokola.”

5 e Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Katonda waffe ajjudde okusaasira.
6 f Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

7 gWummula ggwe emmeeme yange,
kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
8 hKubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
9 indyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
mu nsi ey’abalamu.

10 jNakkiriza kyennava njogera nti,
“Numizibbwa nnyo.”
11 kNe njogera nga nterebuse nti,
“Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 lNditoola ekikompe eky’obulokozi,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 mNdituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna.

15 nOkufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 oAyi Mukama,
onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 pNdiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna,
19 qmu mpya z’ennyumba ya Mukama;
wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
Copyright information for LugEEEE